Acts 20:13 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ffe ne tweyongerayo, ne tusaabala mu lyato, ne tulaga mu Asso, nga twagala Pawulo tumuggye awo, kubanga yali ateesezza kuyita ku lukalu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Pawulo ne tumukulembera ne tusaabala ku nnyanja okulaga mu Aso, Pawulo nga bwe yali ateeseteese, kubanga ye yali ateeseteese kuyita ku lukalu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye ffe ne tukulembera okutuuka ku kyombo ne tusaabala ne tutuuka e Aso, nga tulowooza ng'anatwegatirako eyo, naye ye yali ateeseteese kuyita ku lukalu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ffe ne tusaabala mu lyato, ne tulaga mu Asso gye twali ab'okuggya Pawulo nga bwe yatulagira, kubanga ye yali wa kutuukayo ng'ayita ku lukalu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye ffe ne tukulembera okutuuka ku kyombo ne tugenda okutuuka e Aso, nga twagala eyo okusiika Pawulo: kubanga yali alagidde bw'atyo, ng'ayagala ye yennyini okuyita ku lukalu.