Acts 20:16 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Pawulo yali ateesezza mu Efezi ayite buyisi, aleme kulwa mu Aziya, kubanga yali yeeyuna okubeera mu Yeruzaalemu ku lunaku lwa Pentekooti singa aba asobodde.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Pawulo yali asazeewo obutayimirira mu Efeso nga yeewala okumala ekiseera ekinene mu Asiya, kubanga yali yeeyuna nti ssinga asobola, atuuke mu Yerusaalemi ng’olunaku lwa Pentekoote terunnatuuka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga Pawulo yali asazeewo obutayimirira mu Efeso, aleme okulwa mu Asiya; kubanga yali ayanguwa, oba nga kiyinzika okubeera mu Yerusaalemi ku lunaku lwa Pentekoote.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Pawulo yali ateesezza okuyita mu Efeso, aleme kulwa mu Asiya. Yayagala ayanguwe, Pentekoote bwe kiba kisobose, emusange mu Yerusaalemu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga Pawulo yasiima okuyitira mu Efeso mu kyombo, aleme okulwa mu Asiya; kubanga yali ayanguwa, oba nga kiyinzika okubeera mu Yerusaalemi ku lunaku lwa Pentekoote.