Acts 20:19 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
nga mpeereza Omukama n'obwetoowaze bwonna, mu maziga n'ebigezo bye nasanga olw'enkwe z'Abayudaaya,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
nkoze omulimu gwa Mukama mmuweereza n’obuwombeefu n’amaziga n’okugezesebwa ebyantukako olw’enkwe z’Abayudaaya.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
nga mpeereza Mukama waffe n'obuwombeefu bwonna n'amaziga n'okugezesebwa ebyantukako olw'enkwe z'Abayudaaya:
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naweereza Mukama n'obwetoowaze bwonna, era mumanyi nga bwe nabonaabona ennyo olw'enkwe Abayudaaya ze bansaliranga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
nga mpeereza Mukama waffe n'obuwombeefu bwonna n'amaziga n'okukemebwa kwe nnalaba mu nkwe z'Abayudaaya: