Acts 20:25 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Wuuno kati nze mmanyi nga mmwe mwenna be nayitaayitamu nga mbayigiriza obwakabaka bwa Katonda temukyaddayo kulaba ku maaso gange.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Ne kaakano mmanyi nga temukyaddayo kundaba nate, mwenna be natambulamu nga mbuulira obwakabaka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kaakano, laba, nze mmanyi nga temukyaddayo kulaba maaso gange mmwe mwenna be nnayitangamu nga mbuulira obwakabaka.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Kaakano nze mmanyi nga mmwe mwenna, be nayitaayitangamu nga mbategeeza Obwakabaka bwa Katonda, temukyaddayo kundaba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kaakano, laba, nze mmanyi nga temukyandaba maaso gange mmwe mwenna be nnayitangamu nga mbuulira obwakabaka.