Acts 20:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Eyo yamalayo emyezi esatu. Bwe yali ali kumpi okusaabala okugenda mu Siriya, Abayudaaya ne bamusalira enkwe, kwe kusalawo adde ng'ayitira mu Masedoniya.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
n’amalamu emyezi esatu. Bwe yali ateekateeka okusaabala ku nnyanja okulaga mu Siriya, n’avumbula olukwe Abayudaaya lwe baali basaze okumutta, kyeyava asalawo okuddayo mu Makedoniya gy’aba ayita.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Eyo n'amalayo emyezi esatu. Bwe yali ateekateeka okusaabala ku nnyanja okulaga e Busuuli, n'ategeera olukwe Abayudaaya lwe baali basaze, n'asalawo okuddayo mu Makedoni.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
n'amalayo emyezi esatu. Bwe yali ng'anaatera okusaabala okugenda e Siriya, Abayudaaya ne bamusalira olukwe, kyeyava asalawo okuyita e Makedooniya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bwe yamalayo emyezi esatu, era Abayudaaya bwe baamusalira olukwe, bwe yali ng'agenda okuyita mu nnyanja okuddayo mu Makedoni.