Acts 20:30 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
ne mu mmwe mwennyini mulisibukamu abasajja abayigiriza ebikyamu, basikirize abayigirizwa babagoberere.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne mu mmwe bennyini mulivaamu abasajja aboogera ebintu ebikyamu, okwefunira abayigirizwa abanaabagobereranga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
era mu mmwe mwekka muliva abantu nga boogera ebigambo ebikyamye, okuwalula abayigirizwa ku ludda lwabwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne mu mmwe mulivaamu abantu abaliyigiriza eby'obulimba, basikirize abayigirizwa okubagoberera.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
era mu mmwe mwekka muliva abantu ngaboogera ebigambo ebikyamye, okuwalula abayigirizwa ennyuma waabwe.