Acts 20:32 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Na kaakano, mbakwasizza Katonda n'ekigambo ky'eneema ye ekiyinza okubazimba n'okubawa obusika mu abo bonna abaatukuzibwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Kaakano mbasigira Katonda n’ekigambo eky’ekisa kye ebiyinza okubazimba n’okubawa omugabo mu abo bonna abaatukuzibwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era ne kaakano mbasigira Katonda n'ekigambo eky'ekisa kye ekiyinza okuzimba n'okugaba obusika mu abo bonna abaatukuzibwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Kaakano mbakwasa Katonda abakuume, n'ekigambo ekifa ku kisa kye kibayambenga kibazimbe, era kibafunyise omugabo awamu n'abo bonna abatukuzibwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era ne kaakano mbasigira Katonda n'ekigambo eky'ekisa kye ekiyinza okuzimba n'okugaba obusika mu abo bonna abatukuzibwa.