Acts 20:35 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu byonna, nabalagirira nti tuteekwa okutegana tutyo okujuna abateeyinza, nga tujjukira ekigambo ky'Omukama kye yagamba nti: ‘Okugaba kwesiimisa okusinga okufuna.’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mbalaze mu buli kintu nga mu kukola n’amaanyi, kibagwanira okuyamba abanafu, ate n’okujjukira ebigambo bya Mukama waffe Yesu bye yayogera nti, ‘Okugaba kwa mukisa okusinga okuweebwa.’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mbalaze mu byonna bwe kibagwanira okukolanga emirimu bwe mutyo okuyambanga abatalina maanyi, n'okujjukiranga ebigambo bya Mukama waffe Yesu bwe yagamba ye yennyini nti, ‘Okugaba kwa mukisa okusinga okutoola.’ ”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ebyo byonna nabikola okubalaga nti bwe tutyo bwe tusaana okukolanga emirimu, tulyoke tuyambenga abateeyinza, nga tujjukira ebigambo bya Mukama Yesu, eyagamba nti: ‘Okugaba kwa mukisa okusinga okuweebwa.’ ”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mbalaze mu byonna bwe kibagwanira okukolanga emirimu bwe mutyo okuyambanga abatalina maanyi, n'okujjukiranga ebigambo bya Mukama waffe Yesu bwe yagamba ye yennyini nti Okugaba kwa mukisa okusinga okutoola.