Acts 20:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ennaku ez'Emigaati Egitazimbulukuse bwe zaayita, naffe ne tusaabala okuva e Filippi, ne tubatuukako e Turowa mu nnaku ttaano; eyo ne tumalayo ennaku musanvu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne tusaabala ku nnyanja okuva e Firipi nga tumaze embaga ey’Emigaati Egitazimbulukuswa, ne tumala ku nnyanja ennaku ttaano, bannaffe ne tubatuukako mu Tulowa ne tumalawo ennaku musanvu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ffe ne tusaabala okuva e Firipi nga tumaze okukwata ennaku ez'Emigaati Egitazimbulukusiddwa, ne tumala ku nnyanja ennaku ttaano, ne tulyoka tubatuukako. Eyo ne tumalayo ennaku musanvu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ennaku ez'emigaati egitazimbulukusiddwa bwe zaggwa, ne tusaabala okuva e Filippi. Bwe waayitawo ennaku ttaano, ne tubasisinkana mu Turoowa, gye twamala ennaku omusanvu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ffe ne tuva mu Firipi ne tuwanika amatanga oluvannyuma lw'ennaku ez'emigaati egitazimbulukuswa, ne tubatuukako mu Tulowa mu nnaku ttaano; gye twamala ennaku omusanvu.