Acts 20:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ku lunaku olusooka mu wiiki, bwe twakuŋŋaana okumenya omugaati, Pawulo kubanga nga yali wa kusitula nkeera, n'awanvuya ku kuyigiriza kwe okutuusiza ddala mu ttumbi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo olumu ku nnaku za ssabbiiti, bwe twali tukuŋŋaanye okumenya omugaati, Pawulo n’abaako bye yali abayigiriza. Naye olwokubanga enkeera yali asitula, n’ayogerera ebbanga ddene nnyo, n’atuusa mu ttumbi ng’akyayogera!
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo ku lunaku olwolubereberye mu ssabbiiti, bwe twakuŋŋaana okumenya emigaati, Pawulo n'anyumya nabo, ng'ayagala okusitula enkeera, n'alwawo mu kwogera okutuusa ettumbi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo ku lunaku olwaddirira Sabbaato, bwe twakuŋŋaana okuliira awamu ng'abooluganda Pawulo nga bwe yali ow'okusitula enkeera, n'alwawo ng'ayogera nabo okutuusa ettumbi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo ku lunaku olw'olubereberye mu ssabbiiti, bwe twakuŋŋaana okumenya emigaati, Pawulo n'anyumya nabo, ng'ayagala okusitula enkya, n'alwawo mu kwogera okutuusa ettumbi.