Acts 20:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omulenzi omu, erinnya lye Ewutuko, yali atudde awo mu ddirisa, otulo tungi ne tumukwata. Pawulo bwe yalwawo ng'ayigiriza, olw'otulo okumugonza, n'awanuka ku mwaliiro ogwokusatu, n'agwa wansi, ne bamusitulawo kumpi ng'afudde.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Waaliwo omuvubuka erinnya lye Yutuko, eyali atudde mu ddirisa, otulo ne tumukwata. Pawulo bwe yalwawo ng’akyayogera, omuvubuka ne yeebakira ddala, okutuusa lwe yasimattuka mu ddirisa ku mwaliiro ogwokusatu n’agwa ebweru n’afiirawo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Waaliwo omuvubuka erinnya lye Yutuko eyali atudde mu ddirisa, n'akwatibwa otulo tungi. Awo Pawulo bwe yalwawo ng'akyanyumya, ne yeebakira ddala, okutuusa lwe yasumattuka n'ava ku mwaliiro ogwokusatu n'agwa ebweru n'afiirawo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Pawulo bwe yalwawo ng'ayogera, omulenzi erinnya lye Ewutuuko, eyali atudde mu ddirisa, n'akwatibwa otulo tungi, n'awanuka mu kalina eyookusatu n'agwa wansi, ne bamuggyawo ng'afudde.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omulenzi erinnya lye Yutuko n'atuula mu ddirisa, n'akwatibwa otulo tungi; awo Pawulo bwe yalwawo ng'akyanyumya, ng'akwatiddwa otulo tungi n'ava mu nju ey'okusatu, n'agwa, n'alondebwa ng'afudde.