Acts 21:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Twali twakamalawo ennaku ntono, ne watuukawo omulanzi, erinnya lye Agabo, ng'avudde engulu mu Buyudaaya.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne tumalawo ennaku eziwerako, ne wajja nnabbi erinnya lye Agabo ng’ava Buyudaaya.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bwe twalwayo ennaku nnyingi, e Buyudaaya n'evaayo omuntu nnabbi erinnya lye Agabo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe twamalayo ennaku eziwerako, Agabo omulanzi n'atuuka ng'ava e Buyudaaya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bwe twalwayo ennaku nnyingi, e Buyudaaya n'evaayo omuntu nnabbi erinnya lye Agabo.