Acts 21:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe yatutuukako, n'akwata ekimyu kya Pawulo ne yeesiba ebigere n'emikono ng'agamba nti: “Mwoyo Mutuukirivu bw'ati bw'agamba, nti: ‘Omusajja nnannyini musipi guno Abayudaaya bwe bajja okumukola bati mu Yeruzaalemu, bamuweeyo mu mikono gy'ab'amawanga.’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe yajja okutulaba, n’addira olukoba lwa Pawulo ne yeesiba amagulu n’emikono, n’agamba nti, “Mwoyo Mutukuvu ayogera nti, ‘Bw’ati nannyini lukoba luno bw’alisibwa Abayudaaya mu Yerusaalemi ne bamuwaayo mu mikono gy’Abamawanga.’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'ajja gyetuli n'addira olukoba lwa Pawulo ne yeesiba amagulu ge n'emikono gye n'agamba nti, “Bw'atyo bw'ayogera Omwoyo Omutukuvu nti Abayudaaya bwe balisiba bwe batyo mu Yerusaalemi omuntu nannyini lukoba luno, balimuwaayo mu mikono gy'ab'amawanga.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'ajja gye tuli, n'akwata olukoba lwa Pawulo, n'alwesiba amagulu n'emikono, n'agamba nti: “Mwoyo Mutuukirivu agamba nti: ‘Bwe batyo Abayudaaya abali e Yerusaalemu bwe balisiba nnannyini lukoba luno, era balimuwaayo eri ab'amawanga amalala.’ ”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ajja gye tuli n'addira olukoba lwa Pawulo ne yeesiba amagulu ge n'emikono gye n'agamba nti Bw'atyo bw'ayogera Omwoyo Omutukuvu nti Abayudaaya bwe balisiba bwe batyo mu Yerusaalemi omuntu nannyini lukoba luno, balimuwaayo mu mikono gy'ab'amawanga.