Acts 21:13 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Pawulo n'addamu nti: “Mubadde mutya okukaaba n'okuntengula omutima? Manyanga nze neetegese si kusibibwa kyokka, naye n'okufiira mu Yeruzaalemu olw'erinnya lya Yezu Kristu.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye Pawulo n’addamu nti, “Lwaki mukaaba n’okwagala okunnafuya omutima? Kubanga seeteeseteese kusibibwa kyokka, naye neetegese n’okufiira mu Yerusaalemi olw’erinnya lya Mukama waffe Yesu.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Pawulo n'alyoka addamu nti, “Mukola ki ekyo? Okukaaba n'okumenya omutima gwange? Kubanga nze seetegese kusibibwa busibibwa era naye n'okufiira mu Yerusaalemi olw'erinnya lya Mukama waffe Yesu.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kyokka ye n'addamu nti: “Lwaki mukaaba okunafuya omutima gwange? Nze neetegese si kusibibwa kwokka, wabula n'okufiira mu Yerusaalemu, olw'erinnya lya Mukama Yesu.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Pawulo n'alyoka addamu nti Mukola ki okukaaba n'okumenya omutima gwange? Kubanga nze seetegese kusibibwa busibibwa era naye n'okufiira mu Yerusaalemi olw'erinnya lya Mukama waffe Yesu.