Acts 21:16 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abayigirizwa abamu ab'e Kayisariya baagenda naffe, ne batutuusiza ddala ku nnyumba ya Munasoni ow'e Kupuro, omu ku bayigirizwa abaasooka, tusulenga ew'oyo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abamu ku bayigirizwa ab’e Kayisaliya ne batuwerekerako, bwe twatuuka ne tubeera mu maka ga Munasoni, edda eyabeeranga e Kupulo era nga yali omu ku bantu abaasooka okukkiriza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abamu ku bayigirizwa abaava e Kayisaliya ne bagenda naffe, bwe twatuuka ne tubeera mu maka ga Munasoni ow'e Kupulo omu ku bayigirizwa abaasooka.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abamu ku bayigirizwa ab'omu Kayisaariya ne batuwerekera, ne batutuusa ew'omusajja ayitibwa Munasoni, ow'e Kipuro, omu ku bayigirizwa abaasooka, eyali ow'okutusuza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era n'abayigirizwa abaava e Kayisaliya ne bagenda naffe, ne baleeta omuntu Munasoni ow'e Kupulo omuyigirizwa ow'edda, agenda okutusuza.