Acts 21:20 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bo bwe baawulira, ne bagulumiza Katonda, ne bamugamba nti: “Owooluganda, naawe olaba nga waliwo nkumi na nkumi mu Buyudaaya abakkiriza, naye bonna nga bakyatakabanira Etteeka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe baabiwulira byonna ne batendereza Katonda, naye ne bagamba Pawulo nti, “Owooluganda, omanyi ng’Abayudaaya nkumi na nkumi bakkiriza, era nga bonna bakakatira ku kimu nti Abayudaaya bonna wadde abakkiriza basaana okugoberera amateeka, n’empisa, n’obulombolombo, eby’Ekiyudaaya.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nabo bwe baawulira ne bagulumiza Katonda; ne bamugamba nti, “ Olaba, ow'oluganda, abantu nkumi na nkumi abakkiriza mu Bayudaaya, nabo bonna bagala okukwata obutiribiri amateeka,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bo bwe baabiwulira, ne bagulumiza Katonda. Kyokka ne bagamba Pawulo nti: “Owooluganda, naawe olaba nti waliwo Abayudaaya nkumi na nkumi abaakyuka ne bakkiriza era nga bonna bakyakuuma butiribiri amateeka ga Musa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nabo bwe baawulira ne bagulumiza Katonda; ne bamugamba nti Olaba, ow'oluganda, enkumi bwe ziri mu Bayudaaya abantu abakkiriza; nabo bonna balina obuggya obw'amateeka: