Acts 21:24 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Baddire ogende weetukuze nabo, obasasulire n'ebisale, basobole okumwebwa emitwe. Bonna lwe banaamanya ng'ebyo bye bawulira ku ggwe si bituufu, wabula nga naawe mu mpisa ogoberera Etteeka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Genda nabo mu Yeekaalu weerongooseze wamu nabo, era obasasulire ensimbi ez’okumwa emitwe gyabwe. Kale buli omu ajja kukiraba era abantu bonna bajja kutegeera nti okiriziganya n’okukuuma amateeka, n’ebyo bye bakwogerako tebiriimu nsa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
genda nabo otukuzibwe wamu nabo, obasasulire ensimbi ez'okumwa emitwe gyabwe. Kale bonna banaategeera ng'ebigambo bye baabuulirwa ku ggwe tebiriimu; naye nga naawe wennyini weegendereza ng'okwata amateeka.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Batwale weetabe wamu nabo mu mukolo ogw'okutukuzibwa, era obasasulire, balyoke bamwebwe enviiri. Olwo abantu bonna banaamanya nti bye baawulira ku ggwe si bituufu, wabula nti okwata amateeka ga Musa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
obatwale abo otukuzibwe wamu nabo, obawe effeeza beemwe emitwe: bonna banaategeera ng'ebigambo bye baabuulirwa ku ggwe tebiriimu; naye nga naawe wennyini weegendereza ng'okwata amateeka.