Acts 21:25 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye bo ab'amawanga abakkiriza, twabawandiikira ku kye twateesa nti beewale ebiwongeddwa balubaale, omusaayi, ensolo entuge n'obwenzi.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ku nsonga z’Abamawanga abakkiriza, twabawandikira nga tubagamba baleme kugoberera bulombolombo bwa Kiyudaaya n’akatono wabula ebyo bye twassa mu bbaluwa yaffe era bye bino; obutalya nnyama ya bisolo ebiweereddwayo eri bakatonda abalala, n’obutalya ebitugiddwa oba okulya omusaayi, era n’okwewala obwenzi.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye ku nsonga z'Abamawanga abakkiriza, twabawandiikira nga tubagamba nti beekuumenga ebintu ebiweebwa eri ebifaananyi n'omusaayi n'ebitugiddwa n'obwenzi.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye ab'amawanga amalala abakkiriza, twabawandiikira ne tubategeeza kye twasalawo nti baleme kulyanga biweereddwayo eri balubaale, wadde okulya omusaayi, oba ensolo etugiddwa, era beewale obwenzi.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye ab'amawanga abakkiriza twawandiika ne tusala omusango nti beekuumenga mu bintu ebiweebwa eri ebifaananyi n'omusaayi n'ebitugiddwa n'obwenzi.