Acts 21:26 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Pawulo n'atwala abasajja, ku lunaku olwaddako ne yeetukuza nabo, n'ayingira mu Kiggwa okutegeeza ennaku ze banaamala mu kwetukuza, n'ekitone lwe kinaaweerezebwa ku lwabwe kinnoomu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ku lunaku olwaddirira Pawulo n’atwala abasajja okwerongoosa, naye ne yeerongoosa nabo. N’ayingira mu Yeekaalu okutegeera olunaku ekiseera ky’okwerongoosa eky’ennaku omusanvu we kiriggweerako, olwo buli omu alyoke atwaleyo ekiweebwayo kye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Pawulo n'atwala abasajja abo, ku lunaku olwaddirira n'atukuzibwa wamu nabo. N'ayingira mu Yeekaalu okutegeeza ennaku ez'okutukuza we ziriggweerako, olwo buli omu atwaleyo ekiweebwayo kye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Pawulo n'atwala abasajja abo. Ku lunaku olwaddirira ne yeetaba wamu nabo mu mukolo ogw'okutukuzibwa. N'ayingira mu Ssinzizo okumanyisa ennaku ze banaamala mu kutukuzibwa, era n'ekiseera we banaaweerayo ekirabo ku lwa buli omu ku bo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Pawulo n'alyoka atwala abantu, ku lunaku olw'okubiri n'atukuzibwa wamu nabo n'ayingira mu yeekaalu okulaga ennaku ez'okutukuza bwe zituuse, okutuusa ekiweebwayo lwe kyaweebwayo olwa buli omu ku bo.