Acts 21:27 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye ennaku omusanvu bwe zaali zinaatera okuggwaako, Abayudaaya ab'omu Aziya bwe baamulaba mu Kiggwa, ne basasamaza ekibiina kyonna, ne bamukwata
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo ekiseera eky’ennaku omusanvu bwe kyali kiri kumpi okuggwaako, ne wabaawo Abayudaaya abaava mu Asiya ne balaba Pawulo mu Yeekaalu, ne basasamaza ekibiina kyonna, ne bakwata Pawulo
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo ennaku omusanvu bwe zaali zinaatera okugwako, ne wabaawo Abayudaaya abaava mu Asiya abalaba Pawulo mu Yeekaalu ne basasamaza ekibiina kyonna ne bamukwata,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo ennaku omusanvu bwe zaali zinaatera okuggwaako, Abayudaaya abamu abaava mu Asiya, ne balaba Pawulo ng'ali mu Ssinzizo. Ne basasamaza abantu bonna, ne bakwata Pawulo
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo ennaku omusanvu bwe zaali zinaatera okutuuka, Abayudaaya abaava mu Asiya ne bamulaba mu yeekaalu ne basasamaza ekibiina kyonna ne bamukwata,