Acts 21:28 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
nga bwe baleekaana nti: “Abasajja Abayisirayeli, mutuyambe. Ono ye musajja ayigiriza obubi abantu buli wantu ku ggwanga, Etteeka n'ekifo kino. Ate yayingizizza n'Abagereeki mu Kiggwa, era ajaajaamizza ekifo kino ekitukuvu.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
nga bwe baleekaana nti, “Abasajja Abayisirayiri! Mutuyambe! Ono ye musajja agenda ayogera obubi ku ggwanga lyaffe ne ku mateeka gaffe ne ku kifo kino, ng’ayigiriza buli muntu buli wantu. Era ayonoonye Yeekaalu yaffe ng’agireetamu Abayonaani.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
nga boogerera waggulu nti, “Abasajja Abaisiraeri, mutuyambe: ono ye musajja agenda ayigiriza obubi mu buli kifo ku bantu ne ku mateeka ne ku kifo kino: era nate aleese Abayonaani mu Yeekaalu, ayonoonye ekifo ekitukuvu.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
nga bwe baleekaana nti: “Abasajja Abayisirayeli, mutuyambe! Ono ye muntu agenda ng'ayigiriza abantu mu buli kifo, banyoomoole eggwanga lyaffe, n'amateeka ga Musa, era n'ekifo kino. Ate kaakano aleese n'Abayonaani mu Ssinzizo, n'ayonoona ekifo kino ekitukuvu.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
nga boogerera waggulu nti Abasajja Abaisiraeri, mutuyambe: ono ye muntu oli ayigiriza bonna buli kifo obubi ku bantu ne ku mateeka ne ku kifo kino: era nate aleese Abayonaani mu yeekaalu, ayonoonye ekifo ekitukuvu.