Acts 21:29 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu kusooka baali balabye Turofimo ow'omu Efezi ng'ali naye mu kibuga, ne balowooza nti Pawulo y'amuyingizizza mu Kiggwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga baamulabako ng’atambula mu kibuga ne Tulofiimo, eyava mu Efeso, ne balowooza nti Pawulo yamutwala ne mu Yeekaalu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga baali bamaze okulaba Tulofiimo Omwefeso ng'ali naye mu kibuga: ne bategeera nti Pawulo amuleese mu Yeekaalu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ekyo baakyogera kubanga baali balabye Turofimo ow'e Efeso ng'ali ne Pawulo mu kibuga, ne bateerera nti Pawulo amuyingizizza mu Ssinzizo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga baali bamaze okulaba Tulofiimo Omuwefeso ng'ali naye mu kibuga: ne bateerera nti Pawulo amuleese mu yeekaalu.