Acts 21:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe twamala okwerula Kupuro, ne tukireka ku gwa kkono, ne tulaga mu Siriya, ne tugoba e Tiiro; kubanga eyo eryato gye lyali lijja okutikkulirako ebintu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne tulengera ekizinga Kupulo, ne tukiyitako nga tukirese ku mukono gwaffe ogwa kkono, ne tuseeyeeya ne tugoba ku mwalo gw’e Ttuulo mu Siriya, kubanga ekyombo we kyali kigenda okutikkulirwa ebintu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bwe twalengera Kupulo, ne tukireka ku mukono ogwa kkono ne tugenda e Busuuli, ne tugoba e Ttuulo: kubanga eyo ekyombo gye kyayagala okutikkulira ebintu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe twalengera Kipuro, ne tukireka ku luuyi olwa kkono, ne tulaga e Siriya, ne tugoba e Tiiro, kubanga eyo gye baali baagala okutikkulira ebintu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bwe twalengera Kupulo, ne tukireka ku mukono ogwa kkono ne tugenda e Busuuli, ne tugoba e Ttuulo: kubanga eyo ekyombo gye kyayagala okusiikululira ebintu.