Acts 21:30 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ekibuga kyonna ne kigugumuka, abantu bonna ne badduka wamu, ne bakwata Pawulo, ne bamuwalaawala okumufulumya mu Kiggwa; amangu ago enzigi ne ziggalibwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ekibuga kyonna ne kijagalala olw’okuwulira ebigambo ebyo, era abantu ne bajja nga badduka okuva mu buli nsonda y’ekibuga. Ne bakwata Pawulo ne bamufulumya ebweru wa Yeekaalu, amangwago ne baggalawo enzigi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ekibuga kyonna ne kyegugumula, abantu ne bakuŋŋaana mangu, ne bakwata Pawulo ne bamuwalula okumufulumya ebweru wa Yeekaalu, amangwago ne baggalawo enzigi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ekibuga kyonna ne kitabanguka, abantu ne bagugumuka ne bakwata Pawulo ne bamuwalaawala, ne bamufulumya ebweru w'Essinzizo. Amangwago enzigi ne ziggalwawo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ekibuga kyonna ne kyegugumula, abantu ne bakuŋŋaana mbiro; ne bakwata Pawulo ne bamuwalula okumufulumya ebweru wa yeekaalu: amangu ago enzigi ne ziggalwawo.