Acts 21:31 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Baali bakyayiiya ag'okumutta, ne babuulira omukulu w'abaserikale nti Yeruzaalemu kyali mu katabanguko.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye bwe baayagala okumutta, amawulire ne gatuuka ku mukulu w’ekitongole ky’abaserikale Abaruumi nti Yerusaalemi kiguddemu akeegugungo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bwe baali basala amagezi okumutta, ebigambo ne bituuka ku mwami omukulu w'ekitongole ekya basserikale nti Yerusaalemi kyonna kyefuukudde.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe baali basala amagezi okumutta, ebigambo ne bituuka eri omukulu w'abaserikale nti Yerusaalemu kyonna kijagaladde.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bwe baali basala amagezi okumutta, ebigambo ne bituuka ku mwami omukulu w'ekitongole ekya basserikale nti Yerusaalemi kyonna kyefuukudde.