Acts 21:32 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mangu ddala n'alondamu abaserikale ne basenturiyo, n'akkirira bunnambiro gye bali. Bwe baalaba omukulu w'abaserikale n'abaserikale, ne balekera awo okukuba Pawulo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Amangwago n’asindika abaserikale n’abaduumizi baabwe, ne badduka okugenda eri ekibiina ky’abantu. Awo bwe baalaba omuduumizi n’abaserikale nga bajja, ne balekeraawo okukuba Pawulo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Amangwago n'atwala basserikale n'abaami n'aserengeta mangu gye baali. Awo bwe baalaba omwami omukulu n'abasserikale ne balekerawo okukuba Pawulo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Teyalwa, n'atwala abaserikale n'abakulu baabwe, n'aserengeta eri ekibiina ky'abantu. Bo bwe baamulaba ng'ali n'abaserikale, ne balekera awo okukuba Pawulo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Amangu ago n'atwala basserikale n'abaami n'aserengeta gye baali mbiro: nabo bwe baalaba omwami omukulu n'abaserikale ne baleka okukuba Pawulo.