Acts 21:37 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Pawulo bwe yali ng'anaatera okuyingizibwa mu kigo, n'agamba omuduumizi nti: “Nzikirizibwa okubaako kye nkugamba?” N'agamba nti: “Omanyi Olugereeki?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo abaserikale bwe baali bagenda okuyingiza Pawulo mu nkambi yaabwe, n’asaba omukulu waabwe nti, “Onzikiriza mbeeko kye nkugamba?” N’amuddamu nti, “Omanyi n’Oluyonaani?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Pawulo bwe yali anaatera okuyingizibwa mu nkambi n'agamba omukulu w'abasserikale nti, “ Okkiriza mbeeko kye nkubuulira?” N'amuddamu nti, “ Omanyi Oluyonaani?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Pawulo bwe yali anaatera okuyingizibwa mu kigo, n'agamba omukulu w'abaserikale nti: “Onzikiriza mbeeko kye nkutegeeza?” Omukulu w'abaserikale n'amubuuza nti: “Omanyi Oluyonaani?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Pawulo bwe yali anaatera okuyingizibwa mu kigo n'agamba omwami omukulu nti Kirungi mbeeko kye nkubuulira? N'agamba nti Omanyi Oluyonaani?