Acts 21:38 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Si ggwe Mumisiri gye buvuddeko eyajagalaza abasajja Abasikari enkumi ennya n'abatwala mu ddungu?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ye si ggwe Mumisiri eyajeemesa abantu mu nnaku ezayita, n’okulembera abatemu enkumi nnya n’obalaza mu ddungu?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Si ggwe Mumisiri, mu nnaku eziyise eyajeemesa abantu, n'otwala abatemu enkumi ennya (4,000) mu ddungu?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Si ggwe Mumisiri oli eyaleeta akajagalalo mu nnaku ezo, n'atwala abantu abatemu enkumi ennya mu ddungu?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale si ggwe Mumisiri oli mu nnaku ezaayita eyajeemesa abantu enkumi ennya ku Batemu bali, n'abatwala mu ddungu?