Acts 21:39 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Pawulo n'amugamba nti: “Nze ndi Muyudaaya ow'omu Taruso eky'omu Silisiya, munnakibuga ow'omu kibuga ekitali kitene. Nkwegayiridde, mpa mbeeko kye ŋŋamba abantu.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Pawulo n’addamu nti, “Nedda, nze ndi Muyudaaya, ewaffe Taluso ekiri mu Kirukiya, ekibuga ekitanyoomebwa, era omutuuze. Nkwegayiridde nzikiriza njogere n’abantu bano.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye Pawulo n'addamu nti, Nze ndi Muyudaaya, ow'omu kibuga Taluso eky'omu Kirukiya, omutuuze mu kibuga ekitannyoomebwa. Nkwegayiridde, nzikiriza njogere eri abantu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Pawulo n'addamu nti: “Nze ndi Muyudaaya, enzaalwa y'omu Taruso eky'omu Kilikiya, ekimanyiddwa obulungi. Nkwegayiridde, nzikiriza mbeeko kye ŋŋamba abantu.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye Pawulo n’agamba nti Nze ndi muntu Muyudaaya, ow’e Taluso eky’omu Kirukiya, si wa mu kibuga ekitali kimanyifu: era nkwegayiridde, ndeka njogere n'abantu.