Acts 21:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe twamala okuzuula abayigirizwa, ne tumalayo ennaku musanvu. Mu Mwoyo ne bagamba Pawulo aleke kwambuka Yeruzaalemu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe twava mu kyombo ne tunoonya abayigirizwa ne tubeera nabo ennaku musanvu. Mwoyo Mutukuvu n’ayogerera mu bayigirizwa abo ne balabula Pawulo aleme kugenda Yerusaalemi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bwe twalabayo abayigirizwa ne tumalayo ennaku musanvu. Abo ne bagamba Pawulo mu Mwoyo aleme okulinnya mu Yerusaalemi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Eyo twasangayo abayigirizwa, ne tumalayo ennaku musanvu. Ku bwa Mwoyo Mutuukirivu, abo ne bagamba Pawulo aleme kugenda Yerusaalemu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bwe twalabayo abayigirizwa ne tumalayo ennaku musanvu. Abo ne bagamba Pawulo mu Mwoyo aleme okulinnya mu Yerusaalemi.