Acts 21:40 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe yamukkiriza, Pawulo n'ayimirira ku madaala, ekibiina n'akiwenyako n'omukono. Bwe wajjawo akasiriikiriro ak'amaanyi n'ayogera gye bali mu Lwebureeyi, n'agamba nti:
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo omuduumizi w’abaserikale kwe kumukkiriza, Pawulo n’ayimirira ku madaala n’akoma ku bantu basirike, amangwago ekibiina kyonna ne kisiriikirira, n’alyoka ayogera nabo mu Lwebbulaniya ng’abagamba nti:
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bwe yamukkiriza, Pawulo n'ayimirira ku madaala n'awenya ku bantu, bwe baamala okusiriikira ddala, n'ayogera mu lulimi Olwebbulaniya ng'agamba nti:
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe yamukkiriza, Pawulo n'ayimirira ku madaala, n'abawenya n'omukono. Bwe baasiriikirira, n'ayogera nabo mu lulimi Olwebureeyi, n'agamba nti:
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bwe yamukkiriza, Pawulo n'ayimirira ku madaala n'awenya n'omukono abantu: bwe baamala okusiriikirira ddala, n'ayogera mu lulimi Olwebbulaniya ng'agamba nti