Acts 21:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ennaku zaffe bwe zaggwaako, ne tusitula twongere olugendo lwaffe; bonna n'abakazi n'abaana, ne batuwerekera okutuusa nga batumazizzaako ekibuga kyabwe. Ne tufukamira ku lubalama, ne twegayirira, ne tusiibulagana.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ennaku ezo bwe zaggwaako ne tusitula. Abayigirizwa ne bakyala baabwe n’abaana baabwe ne batuwerekerako okutuggya mu kibuga okututuusiza ddala ku mwalo. Awo ffenna ne tufukamira ne tusaba.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo bwe twamalayo ennaku ezo ne tuvaayo ne tugenda; bonna ne batuwerekerako wamu n'abakyala baabwe n'abaana baabwe, okutuuka ebweru w'ekibuga: ne tufukamira ku lubalama lw'ennyanja, ne tusaba;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ennaku ezo bwe zaggwaako, ne tuvaayo. Bonna awamu n'abakazi n'abaana ne batuwerekerako okututuusa ebweru w'ekibuga. Ffenna ne tufukamira ku lubalama lw'ennyanja ne twegayirira Katonda.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo bwe twamalayo ennaku ezo ne tuvaayo ne tugenda; bonna ne batuwerekerako n'abakazi n'abaana abato okutuuka ebweru w'ekibuga: ne tufukamira ku lubalama lw'ennyanja, ne tusaba;