Acts 22:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne ŋŋamba nti: ‘Nkole ki, Mukama?’ Omukama n'aŋŋamba nti: ‘Situka, ogende mu Damasiko; eyo gy'onoobuulirwa byonna by'otegekeddwa okukola.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Ne mmubuuza nti, ‘Nkole ki, Mukama wange?’ “Mukama waffe n’anziramu nti, ‘Yimuka ogende mu Damasiko, bw’onootuuka eyo ojja kutegeezebwa byonna bye nkutumye okukola.’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne ŋŋamba nti, Nnaakola ntya, Mukama wange? Mukama waffe n'aŋŋamba nti, ‘Golokoka, ogende e Ddamasiko, onoobuulirirwa eyo ebigambo ebyo byonna by'olagiddwa okukola.’
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne ŋŋamba nti: ‘Nkole ki Mukama wange?’ Awo Mukama n'aŋŋamba nti: ‘Golokoka ogende e Damasiko, eyo gy'onootegeerezebwa byonna by'olagiddwa okukola.’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne ŋŋamba nti Nnaakola ntya, Mukama wange? Mukama waffe n'aŋŋamba nti Golokoka, ogende e Ddamasiko, onoobuulirirwa eyo ebigambo ebyo byonna by'olagiddwa okukola.