Acts 22:14 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'agamba nti: ‘Katonda wa bajjajjaffe yakulonderawo omanye ky'ayagala, era olabe ne ku Mutuukirivu, owulire eddoboozi eriva mu kamwe ke.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Awo n’aŋŋamba nti, ‘Katonda wa bajjajjaffe akulonze otegeere by’ayagala era olabe Omutuukirivu we, era owulire okuyitibwa okuva mu kamwa ke.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'agamba nti, ‘Katonda wa bajjajjaffe yakulonda dda otegeere ebyo by'ayagala, era olabe Omutuukirivu oli, era owulire eddoboozi eriva mu kamwa ke.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'agamba nti: ‘Katonda wa bajjajjaffe akulonze otegeere ky'ayagala, olabe Omutuukirivu we, era owulire eddoboozi lye,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'agamba nti Katonda wa bajjajjaffe yakulonda dda otegeere ebyo by'ayagala, era olabe Omutuukirivu oli, era owulire eddoboozi eriva mu kamwa ke.