Acts 22:16 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ye ate kati okyalinda ki? Situka obatizibwe, weenaazeeko ebibi byo ng'oyatula erinnya lye.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kaakano olinda ki? Situka obatizibwe onaazibweko ebibi byo nga bw’oyatudde erinnya lye.’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale kaakano ekikulwisa ki? Golokoka, obatizibwe onaazibweko ebibi byo, nga weegayirira erinnya lye.’ ”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale kaakano lwaki olwa? Situka obatizibwe, onaazibweko ebibi byo nga weegayirira Katonda.’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale kaakano ekikulwisa ki? Golokoka, obatizibwe onaaze ebibi byo, nga weegayirira erinnya lye.