Acts 22:18 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
ne mmulaba ng'aŋŋamba nti: ‘Yanguwa ove mu Yeruzaalemu kubanga tebajja kukkiriza by'onjulirako.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
ne nfuna okwolesebwa ne ndaba Mukama waffe ng’ayogera nange, n’aŋŋamba nti, ‘Yanguwa mangu ove mu Yerusaalemi, kubanga abantu ba wano tebajja kukkiriza bubaka bwo bw’onoobategeeza obufa ku nze.’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
ne mmulaba ng'aŋŋamba nti, ‘Yanguwa ove mangu mu Yerusaalemi; kubanga tebalikkiriza kutegeeza kwo ku nze.’
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
ne ndaba Mukama ng'aŋŋamba nti: ‘Yanguwa ove mangu mu Yerusaalemu, kubanga abaamu tebajja kukkiriza by'obategeeza ku lwange.’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ne mmulaba ng'aŋŋamba nti Yanguwa ove mangu mu Yerusaalemi; kubanga tebalikkiriza kutegeeza kwo ku nze.