Acts 22:19 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne ŋŋamba nti: ‘Ayi Mukama nabo bamanyi nga mu buli sinaagooga abakukkiriza nabasuulanga mu makomera, ne mbakuba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Ne nziramu nti, ‘Naye Mukama wange, abantu bonna bamanyi nga bwe nagendanga mu buli kkuŋŋaaniro ne nzigyamu abakukkiriza, ne mbatwala ne bakubwa emiggo n’okusibibwa ne basibibwa mu kkomera.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nange ne ŋŋamba nti, ‘Mukama wange, bo bennyini bamanyi nti nze nnabateekanga mu makomera era nga nnabakubiranga mu buli kkuŋŋaaniro abakukkiriza:
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne nziramu nti: ‘Mukama wange, bo bennyini bamanyi nti abakukkiriza nabateekanga mu kkomera era nga nabakubiranga mu makuŋŋaaniro.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nange ne ŋŋamba nti Mukama wange, bo bennyini bamanyi nti nze nnabateekanga mu makomera era nga nnabakubiranga mu buli kkuŋŋaaniro abakukkiriza: