Acts 22:20 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'omusaayi gwa Stefano omujulizi wo bwe gwali guyiibwa, nange era nali awo, ne nkakasa, ne nkuuma n'ebyambalo by'abo abaamutta.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era n’omujulirwa wo Suteefano bwe yali attibwa nnali nnyimiridde awo era nga mpagira okuttibwa kwe, era nga ndabirira engoye z’abo abaali bamutta.’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
era n'omusaayi ogw'omujulirwa wo Suteefano bwe gwayiibwa, nange kennyini nnali nga nnyimiridde awo, nga nsiimye, nga nkuuma ebyambalo byabwe abaamutta.’
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'omujulirwa wo Siteefano bwe yattibwa, nange kennyini naliwo, era nassa kimu n'abo abaamutta, ne nkuuma n'engoye zaabwe.’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
era n'omusaayi ogw'omujulirwa wo Suteefano bwe gwayiibwa, nange kennyini nnali nga nnyimiridde awo, nga nsiimye, nga nkuuma ebyambalo byabwe abaamutta.