Acts 22:24 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
omukulu w'abaserikale n'alagira okumuyingiza mu kigo n'okumukuba enkoba, alyoke amanye ensonga ebaleekaanya batyo olw'okubeera ye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omukulu w’abaserikale n’ayingiza Pawulo munda mu nkambi yaabwe, n’alagira akubwemu embooko nga bwe bamubuuza ayogere omusango gwe yazzizza oguleetedde ekibiina kyonna okwecwacwana.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
omwami omukulu n'alagira okumuleeta mu nkambi, n'alagira okumukemereza nga bwakubibwa embooko, okutegeera ensonga gye bamulanze, ekireetedde ekibiina kyonna okwogerera waggulu ku ye bwe batyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
omukulu w'abaserikale n'alagira batwale Pawulo mu kigo bamukubise embooko eriko amalobo agasuna, bazuule kye bamuvunaana, nga baleekaana bwe batyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
omwami omukulu n'alagira okumuleeta mu kigo, ng'agamba okumukemereza n'emiggo alyoke ategeere ensonga gye bamulanze okwogerera waggulu ku ye bwe batyo.