Acts 22:25 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe baamala okumuswanyuula, Pawulo n'agamba senturiyo eyali amuyimiridde okumpi nti: “Mukkirizibwa okukuba omusajja Omuroma, atannasalirwa na musango?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe baali bamugalamizza nga bagenda okumusiba bamukube, Pawulo n’abuuza omuserikale eyali amuyimiridde okumpi nti, “Amateeka gabakkiriza okukuba omuntu Omuruumi nga temunnaba na kumuwozesa?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bwe baali nga bamaze okumusibya enkoba, Pawulo n'agamba omuserikale eyali amuyimiridde okumpi nti, “Kikkirizibwa mu mateeka okukuba omuntu Omuruumi nga tannaba kusalirwa musango?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Pawulo bwe baamala okumusiba n'enkoba, n'abuuza omukulu w'ekibinja ky'abaserikale eyali ayimiridde awo nti: “Mukkirizibwa okukuba omuntu Omurooma nga tannasalirwa musango kumusinga?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bwe baali nga bamaze okumusibya enkoba, Pawulo n'agamba omwami eyali amuyimiridde okumpi nti Si kya muzizo mmwe okukuba omuntu Omuruumi nga tannaba kusalirwa musango?