Acts 22:26 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Senturiyo bwe yawulira ebyo, n'agenda eri omukulu w'abaserikale n'amugamba nti: “Ogenda kukola ki? Ono omusajja Muroma.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omuserikale n’agenda eri omuduumizi waabwe n’amutegeeza nti, “Kiki kino ky’ogenda okukola? Omusajja ono Muruumi.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omusserikale bwe yawulira n'agenda eri omukulu waabwe n'amubuulira ng'agamba nti, “Ogenda kukola ki? Omusajja ono Muruumi.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omukulu w'ekibinja ky'abaserikale olwawulira ekyo, n'agenda eri omukulu w'abaserikale n'amugamba nti: “Ogenda kukola ki? Omusajja ono Murooma.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omwami bwe yawulira n'agenda eri omwami omukulu n'amubuulira ng'agamba nti Ogenda kukola ki? kubanga omuntu ono Muruumi.