Acts 22:27 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukulu w'abaserikale n'ajja, n'amugamba nti: “Mbuulira, oli Muroma?” N'agamba nti: “Yee.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omuduumizi w’abaserikale n’ajja n’abuuza Pawulo nti, “Mbulira, oli Muruumi?” Pawulo n’amuddamu nti, “Yee, bwe kiri.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omukulu w'abasserikale n'agenda gy'ali, n'amugamba nti, “Mbuulira, ggwe oli Muruumi?” N'amuddamu nti, “ Yee, bwe ndi.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo omukulu w'abaserikale n'agenda eri Pawulo n'amugamba nti: “Mbuulira, oli Murooma?” Pawulo n'addamu nti: “Weewaawo.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omwami omukulu n'agenda gy'ali, n'amugamba nti Mbuulira, ggwe oli Muruumi? N'agamba nti Yee.