Acts 22:28 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukulu w'abaserikale n'addamu nti: “Obutuuze obwo nabugula omuwendo munene.” Pawulo n'addamu nti: “Nze nno nazaalibwa ndi Muroma.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omuduumizi w’abaserikale n’amugamba nti, “Nange ndi Muruumi, naye nabusasulira ensimbi nnyingi.” Pawulo n’amuddamu nti, “Nze mwe nazaalirwa!”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omukulu w'abasserikale n'addamu nti, “Nze nnafuna Oburuumi nga mbusasulidde ensimbi nnyingi nnyo.” Pawulo n'amuddamu nti, “ Nze mmwe nnazaalirwa.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omukulu w'abaserikale n'addamu nti: “Nze okufuna Oburooma kyantwalako ebintu bingi.” Pawulo n'amugamba nti: “Nze nazaalibwa ndi Murooma.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omwami omukulu n'addamu nti Nze nnafuna Oburuumi buno n'ebintu bingi. Pawulo n'agamba nti Naye nze mmwe nnazaalirwa.