Acts 22:29 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Amangu ago abaali bagenda okumwekebejja ne bamuvaako. Omukulu w'abaserikale yennyini bwe yategeera nga Muroma, ate nga yali amusibye, n'atya.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abaserikale abaali beetegese okumubuuza ne baseebulukuka ne bavaawo bwe baategeera nga Pawulo Muruumi, n’omuduumizi waabwe naye n’atya nnyo kubanga yali alagidde okumusiba n’okumukuba kibooko.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo amangwago abaali bagenda okumukemereza ne bamuleka, era n'omukulu w'abasserikale n'atya nnyo bwe yamala okutegeera nga Muruumi, kubanga yali alagidde okumusiba n'okumukuba embooko.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Amangwago, abo abaali bagenda okumubonyaabonya ne bamuleka, n'omukulu w'abaserikale bwe yamala okutegeera nti asibye Omurooma, n'atya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo amangu ago ne balyoka bamuleka abaali bagenda okumukemereza: era n'omwami omukulu n'atya bwe yamala oku tegeera nga Muruumi, era kubanga amusibye.