Acts 22:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Nze ndi musajja Muyudaaya; nazaalibwa Taruso eky'omu Silisiya, ne nkulira mu kibuga kino ku bigere bya Gamalyeli, ne ŋŋunjulibwa mu butuufu ddala ng'amateeka ga bajjajjaffe bwe gali, era ne ntakabanira Katonda nga nammwe mwenna bwe mukola kati.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Pawulo n’abagamba nti, “Ndi Muyudaaya, nazaalibwa mu kibuga Taluso eky’omu Kirukiya, naye ne nkulira wano mu Yerusaalemi. Era mu kibuga muno mwe nayigira ne nzijjumbira amateeka gonna aga bajjajjaffe n’obwegendereza, nga njigirizibwa Gamalyeri. Nafubanga nnyo okuweesa Katonda ekitiibwa mu buli kye nakolanga, nga nammwe bwe mukola leero.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Ndi Muyudaaya, nnazaalibwa mu kibuga Taluso eky'omu Kirukiya, naye ne nkulira mu kibuga kino Yerusaalemi, ne mbeera ne Gamalyeri, eyanjigiririza ddala empisa z'amateeka ga bajjajjaffe, ne nfubanga nnyo okuweereza Katonda nga nammwe bwe mukola leero.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Nze ndi Muyudaaya, enzaalwa y'omu Taruso eky'omu Kilikiya. Nakulira mu kibuga kino, ne njigirizibwa omusomesa Gamaliyeeli okukwata amateeka ga bajjajjaffe, ne njijumbira nnyo ebya Katonda, nga nammwe mwenna bwe mukola kati.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nze ndi muntu Muyudaaya, eyazaalirwa mu Taluso eky'omu Kirukiya, naye eyalererwa mu kibuga muno ku bigere bya Gamalyeri, eyayigirizibwa ennyo mu mpisa z'amateeka ga bajjajja, ne mbeeranga n'obuggya bwa Katonda nga mmwe mwenna bwe muli leero: