Acts 22:30 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Enkeera, olw'okwagala okumanyira ddala ensonga Abayudaaya kwe baali basinziira okumuvunaana, n'amusumulula, n'alagira bakabona abakulu n'olukiiko lwonna olukulu okukuŋŋaana; n'aleeta Pawulo n'amuteeka mu maaso gaabwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Enkeera omuduumizi w’abaserikale bwe yayagala okumanyira ddala ensonga Abayudaaya gye bamulanze, n’asumulula Pawulo mu njegere, n’alagira bakabona abakulu bayite Olukiiko lw’Abayudaaya Olukulu lutuule. N’alagira Pawulo aleetebwe mu Lukiiko ensonga Abayudaaya gye bamuvunaana eryoke etegeerebwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Enkeera omukulu w'abasserikale bwe yayagala okumanya amazima ensonga Abayudaaya gye bamulanze okumuloopa, n'amusumulula n'alagira bakabona abakulu n'olukiiko lwonna okukuŋŋaana, n'aleeta Pawulo n'amuteeka mu maaso gaabwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ku lunaku olwaddirira, omukulu w'abaserikale n'ayagala okumanya ensonga Abayudaaya gye bavunaana Pawulo. Kwe kumusumulula, era n'alagira bakabona abakulu n'ab'Olukiiko bonna okukuŋŋaana. N'aserengesa Pawulo n'amuteeka mu maaso gaabwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye ku lunaku olw'okubiri, bwe yayagala okumanya amazima ensonga Abayudaaya gye bamulanze okumuloopa, n'amusumulula n'alagira bakabona abakulu n'olukiiko lwonna okukuŋŋaana, n'aleeta Pawulo n'amuteeka mu maaso gaabwe.