Acts 22:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ekkubo eryo ne ndiyigganya okutuusa ne ku kutta, nga nsiba, nga ntwala mu makomera abasajja n'abakazi,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nayigganya abantu b’Ekkubo n’okubatuusa ku kufa, ne nkwata abasajja n’abakazi ne mbasibisa mu kkomera.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne njigganyanga abantu b'Ekkubo n'okubatta, nga mbasibanga era nga mbateekanga mu makomera abasajja n'abakazi;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne njigganya ab'Ekkubo eryo okutuuka ne ku kubatta. Ne nkwata abasajja n'abakazi, ne mbateeka mu kkomera.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ne njigganyanga ab'Ekkubo lino n'okubatta, nga mbasibanga era nga mbateekanga mu makomera abasajja n'abakazi;