Acts 22:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
nga kabona omukulu bw'ayinza okunjulira n'olukiiko lwonna olw'abakadde. Bo bankwasa ebbaluwa nzitwale mu booluganda, ne ŋŋenda e Damasiko nzigyeyo abaali eyo, mbaleete e Yeruzaalemu nga basibe, babonerezebwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era Kabona Asinga Obukulu n’ab’Olukiiko Olukulu be bajulirwa bange. Kubanga nabasaba bawandiikire bannaabwe mu Damasiko ebbaluwa okunnyamba nkwate abaali eyo mbaleete wano mu Yerusaalemi nga mbasibye mu njegere mbaweeyo babonerezebwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
era ne kabona asinga obukulu ye mujulirwa wange ow'ebyo n'abakadde bonna: era nabo ne bampa ebbaluwa eri ab'oluganda, ne ntambula okugenda e Ddamasiko abo abaali eyo baleetebwe mu Yerusaalemi nga basibe babonerezebwe.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ssaabakabona n'abantu abakulu mu ggwanga bayinza okunjulira mu ekyo. Bo bampa n'ebbaluwa nzitwalire bannaabwe ab'omu Damasiko. Ne ŋŋenda okukwata abantu abo, mbaleete e Yerusaalemu nga basibe, babonerezebwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
era ne kabona asinga obukulu ye mujulirwa wange ow'ebyo n'abakadde bonna: era nabo ne bampa ebbaluwa eri ab'oluganda, ne ntambula okugenda e Ddamasiko abo abaali eyo baleetebwe mu Yerusaalemi nga basibe babonerezebwe.