Acts 22:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Bwe nali ntambula, nga ndi kumpi n'okutuuka e Damasiko, nga mu ttuntu, amangu ago ne ndabira awo ekitangaala ekinene nga kyaka okuva mu ggulu, ne kinneebungulula,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Naye mu ssaawa ez’omu ttuntu bwe nnali nga nsemberera Damasiko, amangwago ekitangaala eky’amaanyi ekyava mu ggulu ne kinjakira okunneetooloola.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Awo olwatuuka bwe nnali nga ntambula nga nnaatera okutuuka e Ddamasiko, nga mu ttuntu, amangwago omusana mungi ogwava mu ggulu ne gwaka ne gunneetooloola;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Awo olwatuuka, bwe nali nga ntambula, nga nnaatera okutuuka e Damasiko nga mu ttuntu, amangwago okwakaayakana okw'amaanyi okwava mu ggulu ne kunneetooloola.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olwatuuka bwe nnali nga ntambula nga nnaatera okutuuka e Ddamasiko, nga mu ttuntu, amangu ago omusana mungi ogwava mu ggulu ne gwaka ne gunneetooloola;