Acts 23:1 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Pawulo, amaaso ng'agasimbye abaali mu lukiiko, n'agamba nti: “Basajja abooluganda, nze n'okutuusa ku lunaku lwa leero mbadde neeyisa mu maaso ga Katonda n'emmeeme entereevu.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Pawulo n’atunuulira Olukiiko enkaliriza, n’agamba nti, “Baganda bange, obulamu bwange bwonna mbadde ntambulira mu makubo ga Katonda okutuusiza ddala ne ku lunaku lwa leero.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Pawulo n'atunuulira ab'olukiiko enkaliriza, n'agamba nti, “ Ab'oluganda, nze ntambulidde mu maaso ga Katonda n'obwegendereza okutuusiza ddala ku lunaku luno.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Pawulo ne yeekaliriza amaaso ab'Olukiiko, n'agamba nti: “Abasajja abooluganda, neegendereza okutuusa ku lunaku lwa leero nga sirina kinnumya mutima mu maaso ga Katonda.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Pawulo ne yeekaliriza amaaso ab'olukiiko n'agamba nti Abasajja ab'oluganda, nze nneegendereza n'omwoyo gwonna omulungi mu maaso ga Katonda okutuusa ku lunaku luno.